1 Samuel 29:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Akisi nti: “ Kiki kye nakola? Kiki ekitatuuka ky'osanze mu muweereza wo okuva lwe najja ewuwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero ekindobera okujja nnwanyise abalabe ba mukama wange kabaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Naye nkoze ki? Nsonga ki gy’olabye etali nnungi mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n’okutuusa leero? Kiki ekindobera okugenda okulwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Akisi nti, “Naye nkoze ki? Oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, kiki ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Akisi nti: “Naye nkoze ki? Oba kiki kye wali ondabyeko nze omuweereza wo, okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n'okutuusa kati, ekinziyiza okugenda ne nnwanyisa abalabe bo, mukama wange kabaka?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Akisi nti Naye nkoze ki oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka?