1 Samuel 29:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akisi n'ayanukula n'agamba Dawudi nti: “Mmanyi nga mu maaso gange oli mulungi nga malayika wa Katonda; naye abakungu b'Abafilisitiini bagambye nti: ‘Tagenda naffe mu lutalo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akisi n’amuddamu nti, “Mmanyi nga tolina nsonga n’emu mu maaso gange nga malayika wa Katonda, naye abaduumizi b’Abafirisuuti bagambye nti, ‘Tosaana kugenda naffe mu lutalo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti, “Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda; naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti, ‘Tajja kwambuka naffe mu lutalo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akisi n'addamu Dawudi nti: “Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda. Naye abaduumizi b'Abafilistiya bagambye nti: ‘Tojja kugenda naffe mu lutalo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda: naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti Tajja kwambuka naffe mu lutalo: