1 Samuel 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulenzi Samweli yaweerezanga Omukama mu maaso ga Eli. Mu nnaku ezo Omukama okwogera nga kya bbalirirwe, nga n'okulabikirwa tekutera kugwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. Ekigambo kya Mukama kyali kya bbula mu nnaku ezo; era tewaalingawo kwolesebwa kwa lwatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omwana Samweli n'aweerezanga Mukama ng'alabirirwa Eli. Mu nnaku ezo, Mukama yali tatera kwogera na bantu wadde okubalabikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. N'ekigambo kya Mukama kyali kya muwendo mungi mu nnaku ezo; tewaabaagawo kwolesebwa kwa lwatu.