1 Samuel 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ajja, n'ayimirira awo, n'ayita nga bwe yayita mu kusooka nti: “Samweli, Samweli.” Samweli n'agamba nti: “Yogera, kubanga omuweereza wo awulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'ajja n'ayita ng'olulala nti, “Samwiri, Samwiri.” Awo Samwiri n'addamu nti, “Yogera kubanga omuddu wo awulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'ajja n'ayimirira awo, n'ayita nga mu kusooka nti: “Samweli, Samweli!” Samweli n'addamu nti: “Yogera, omuddu wo awulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ajja n'ayimirira n'ayita ng'olulala nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'ayogera nti Yogera; kubanga omuddu wo awulira.