1 Samuel 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Samweli nti: “Nzuuno ŋŋenda okukola ekigambo mu Yisirayeli, buli yenna anaaba akiwuliddeko amatu ganaamuwaawaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Laba ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryanaamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Samweli nti: “Ŋŋenda okukola ekintu mu Yisirayeli, ekiriwaawaaza amatu ga buli muntu alikiwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Samwiri nti Laba, ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.