1 Samuel 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti namubuulira dda nti ennyumba ye nzija kugisalira omusango emirembe gyonna olw'ebitatuuka bye yamanyaako; kubanga abaana be baakola ebibaweebuula, n'atabakomako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndisalira ennyumba ye omusango ogw'olubeerera olw'ekibi kye yamanya batabani be kye bayonoona ne beeretako ekikolimo naye n'atabaziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nabuulira Eli nti ŋŋenda kuwa ab'ennyumba ye ekibonerezo ekyolubeerera olw'ekibi kye yamanya, olwa batabani be abeeyonoona n'atabaziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga namugamba nga ndisalira ennyumba ye omusango ogw'ennaku zonna, olw'obutali butuukirivu bwe yamanya, kubanga batabani be beereetako ekikolimo, ye n'atabaziyiza.