1 Samuel 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno nalayirira ennyumba ya Eli nti ebitambiro n'ebitone tebiriddaabiriza musango gwa nnyumba ye emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu bw'ennyumba ye tebugenda kugibwawo na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenvudde ndayirira ab'ennyumba ya Eli nti emirembe gyonna, ekibi kyabwe tekigenda kuggyibwawo na kiweebwayo wadde ekitambiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Eri tebugenda kulongoosebwa na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna.