1 Samuel 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amubuuza nti: “Kigambo ki kye yakugambye? Nkwegayiridde, tonkisa. Omukama akukole bw'atyo, ate asinze nawo, singa ononkisa ekigambo kyonna ku bye yakugambye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri n'amubuuza nti, “Mukama y'akugambye ki? Nkwegayiridde mbuulira tonkisa, Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoonkisa ekigambo kyonna ku ebyo bye yakugambye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eli n'amubuuza nti: “Kiki Mukama kye yakugambye? Nkwegayiridde tokinkisa. Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoobaako ky'onkisa ku ebyo byonna by'akugambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kigambo ki Mukama ky'akugambye? nkwegayiridde, tokinkisa: Katonda akukole bw'atyo n'okukirawo, bw'ononkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna by'akugambye.