1 Samuel 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'amutegeeza byonna, n'atamukisa. Eli n'ayanukula nti: “Ye Mukama. Akole nga bw'ayagadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. Eri n'addamu nti, “Ye Mukama akole nga bw'asiima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'amubuulira byonna, n'atabaako ky'amukisa. Eli n'agamba nti: “Ye Mukama, akole nga bw'asiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. N'ayogera nti Ye Mukama: akole nga bw'asiima.