1 Samuel 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'asuumuka; n'Omukama yabeeranga ne Samweli, era ku bigambo bye byonna tekwali kyagwa butaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, Mukama n'ataganya kigambo kye na kimu kugwa butaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'akula, era Mukama n'aba wamu naye. Mukama n'ataganya kigambo kya Samweli na kimu kugwa butaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, n'ataganya bigambo bye kugwa wansi na kimu.