1 Samuel 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ayongera okulabikiranga e Silo, kubanga Omukama yeeyolekanga Samweli mu Silo, ng'ayita mu kigambo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'ayongera nate okulabikira Samwiri mu Siiro, kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro ng'ayita mu kigambo kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ayongera okulabikira mu Siilo, gye yeeragira Samweli, era n'ayogera naye. Era Samweli buli kye yayogeranga, ng'Abayisirayeli bonna bakiwuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alabikira nate mu Siiro: kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro n'ekigambo kya Mukama.