1 Samuel 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'adduka n'alaga eri Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli n'agamba nti: “Sinnayita; ddayo weebake.” N'agenda, ne yeebaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'ayanguwa n'agenda eri Eri n'ayogera nti, “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita, ddayo weebake.” N'agenda, n'eyeebaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'adduka n'agenda awali Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli n'agamba nti: “Sikuyise, ddayo weebake.” Samweli n'addayo ne yeebaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addukana mbiro n'ajja eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'ayogera nti Sikuyise; galamira nate. N'agenda, n'agalamira.