1 Samuel 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Omukama n'addamu okuyita Samweli. Samweli n'azuukuka, n'alaga eri Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Ye n'ayanukula nti: “Mwana wange, sinnayita. Ddayo weebake.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amuyita nate omulundi ogwokubiri nti, “Samwiri.” Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'amugamba nti “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita ddayo weebake.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu okuyita Samweli. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Kyokka Eli n'addamu nti: “Mwana wange, sikuyise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amuyita nate olw'okubiri nti Samwiri. Samwiri n’agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'addamu nti Sikuyise, mwana wange; galamira nate.