1 Samuel 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ayita Samweli ogwokusatu; ye n'azuukuka, n'alaga eri Eli
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.” Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogwokusatu, Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti “Nze nzuuno kubanga ompise.” Awo Eri n'ategeera nti Mukama ye yali ayita omwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ayita Samweli omulundi ogwokusatu. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n'ategeera nti Mukama ye ayita omwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogw'okusatu. N'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. Awo Eri n'ategeera nga Mukama ye ayise omwana.