1 Samuel 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n'amanya ng'Omukama ye yali ayita omulenzi. N'agamba Samweli nti: “Genda weebake. Bw'addamu okukuyita, mugambe nti: ‘Yogera, ayi Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.’ ” Samweli n'agenda, ne yeebaka mu kifo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake.” Awo olunaatuuka bw'anaaba ng'akuyise onooyanukula nti, “Yogera Mukama wange, kubanga omuddu wo awulira.” Awo Samwiri n'agenda neyeebaka mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eli kyeyava agamba Samweli nti: “Genda weebake. Bw'anaakuyita, onoogamba nti: ‘Yogera Mukama wange, omuddu wo awulira.’ ” Awo Samweli n'addayo ne yeebaka mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri kyeyava agamba Samwiri nti Genda ogalamire: awo olunaatuuka, bw'anaaba ng'akuyise, n'oyogera nti Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira. Awo Samwiri n’agenda n'agalamira mu kifo kye.