1 Samuel 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Dawudi n'awondera ne basajja be ebikumi bina; abaasigalira, ebikumi bibiri, baali bakooye nga tebasobola kusomoka Kiwonvu Besori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Dawudi ne basajja be bina (400) ne beyongerayo; kubanga abalala ebibiri (200) baali baakoye nnyo, ne batasobola nakusomoka kagga Besoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ne yeeyongerayo n'abasajja ebikumi bina, kubanga ebikumi ebibiri baali bakooye nnyo, nga tebasobola kusomoka kagga, ne basigala awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Dawudi n’agoberera, ye n’abasajja ebikumi bina: kubanga ebikumi bibiri baasigala, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayiaza kusomoka kagga Besoli: