1 Samuel 30:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamuwa n'ekitole ky'entontogolo z'omukunyu enkaze n'ebirimba bibiri eby'emizabbibu emiwotose. Bwe yamala okubirya, n'addamu endasi, kubanga yali amaze ennaku ssatu n'ebiro bisatu nga talidde mmere, tanywedde tuzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini n'ebirimba by'ezabbibu ebikalu bibiri (2). Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu (3) nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini, n'ebirimba by'emizabbibu ebikalu bibiri. Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamuwa ekitundu ky'ekitole eky'ettiini n'ebirimba bibiri eby'ezabbibu enkalu; awo bwe yalya omwoyo gwe ne gukomawo: kubanga yali ng'amaze ennaku ssatu emisana n'ekiro nga talya mugaati so nga tanywa n’amazzi.