1 Samuel 30:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amubuuza nti: “Ggwe oli w'ani? Ye ova wa?” N'amugamba nti: “Ndi Mumisiri; ndi muddu wa Mwamaleki; mukama wange yansuula wano, kubanga nali mulwadde, kati ziweze ennaku ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abuuza Omulenzi nti, “Oli musajja w'ani? Era ova wa?” N'addamu nti, “Ndi mulenzi eyava e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula ennaku ssatu (3) eziyise kubanga nali mulwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'amubuuza nti: “Mukama wo ye ani, era ova wa?” N'addamu nti: “Nze ndi mulenzi Mumisiri, omuddu w'Omwamaleki. Mukama wange yansuula ennaku ssatu eziyise, kubanga mbadde mulwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'amugamba nti Ggwe oli musajja w'ani? era ova wa? N'ayogera nti Nze ndi mulenzi w'e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula kubanga ennaku ziri ssatu kasookedde ndwala.