1 Samuel 30:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amugamba nti: “Oyinza okunserengesaayo eri ekikwanga ky'abanyazi abo?” N'amuddamu nti: “Ndayirira Katonda nga tojja kunzita, era tompe mu mikono gya mukama wange, ndyoke nkuserengese eri ekikwanga ky'abanyazi abo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'amugamba nti, “Oyinza okuntwala eri ekibiina kino?” N'amuddamu nti, “Ndayirira Katonda nga tolinzita era tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, ndyoke nkutwale eri ekibiina kino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'amugamba nti: “Oyinza okuntwala n'ontuusa ku banyazi abo?” Oli n'addamu nti: “Ndayirira Katonda nti togenda kunzita, wadde okumpaayo eri mukama wange, olwo nja kukutwala nkutuuse ku banyazi abo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'amugamba nti Ononserengesa eri ekibiina kino? N'ayogera ati Ndayirira Katonda nga tolinzita so tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, nange naakuserengesa eri ekibiina kino.