1 Samuel 30:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amuserengesaayo; bali baali batudde awo wonna nga balya, banywa, beesanyusa olw'omunyago gwonna n'ebintu bye baggye mu nsi y'Abafilisitiini n'eya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamutusaayo, ne babasanga nga beesuddesudde mu kifo kyonna, nga balya, nga banywa, nga basanyuka olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamutuusaayo, ne basanga nga basaasaanye wonna, nga balya, banywa era nga bajaguza olw'omunyago omunene gwe baali bafunye okuva mu Filistiya ne mu Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamuserengesa, laba, nga beesuddesudde ku ttaka lyonna, nga balya nga banywa, nga bafumba embaga, olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda.