1 Samuel 30:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, Dawudi n'abalwanyisa okuva ku makya okutuusa akawungeezi; tewaali n'omu yawonawo, okuggyako abasajja ebikumi ebina abavubuka abaalinnya eŋŋamiya ne badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka bina (400), abeebagala eŋŋamira ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka ebikumi bina, abeebagala eŋŋamiya ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'abatta okutanula ekiro okutuusa olw'enkya lwe lwawungeera: ne watawonako n'omu, wabula abalenzi ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka.