1 Samuel 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yanunula byonna Abaamaleki bye baali batutte, omwali ne bakazi be ababiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze; Dawudi n'awonya bakazi be bombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'akomyawo ebintu byonna, n'abantu bonna Abamaleki be baali banyaze, n'akomyawo bakazi be bombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze: Dawudi n'awonya bakazi be bombi.