1 Samuel 30:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaali yabulako, wadde omuto wadde omukulu, ku balenzi ne ku bawala; tewali kyabulako ku munyago ne ku buli kintu kyonna ekyali kitwaliddwa; byonna Dawudi yabikomyawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne watabulawo kintu kyonna Abamaleki bye baali banyaze, oba kitono oba kinene, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'omunyago gwonna; Dawudi n'akomyawo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali kintu kyabwe na kimu kyabula, ka kibe kitono oba ekinene, ka babe baana ab'obulenzi oba ab'obuwala, ka gube munyago oba ekintu kyonna Abamaleki kye beenyagira. Dawudi n'akomyawo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabulwa kintu, oba kitono oba kinene, newakubadde abaana ab'obulenzi newakubadde ab'obuwala newakubadde omunyago newakubadde ekintu kyonna kye baali beenyagidde: Dawudi n’akomyawo byonna.