1 Samuel 30:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'akwata endiga n'ente, basajja be ne babigoba nga bamukulembeddemu, nga bagenda boogera nti: “Guno munyago gwa Dawudi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'atwala amagana g'endiga n'ente gonna, ne bazigoba okukulemberamu ensolo ezo endala, nga bagamba nti: “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti Guno gwe munyago gwa Dawudi.