1 Samuel 30:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaasigalira nga bakooye ne batasobola kumugoberera, amale abalagire okusigala ku Kiwonvu Besori. Ne bajja okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye; Dawudi n'abasemberera, n'abalamusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebibiri (200), abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebikumi ebibiri, abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besori. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kugoberera Dawudi, era be baatuuza ku kagga Besoli: ne bafuluma okusisinkana ne Dawudi n'okusisinkana n’abantu abaali naye: awo Dawudi bwe yasemberera abantu, n'abalamusa.