1 Samuel 30:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abamu ku basajja abaali bagenze ne Dawudi, ababi empongabyoya, ne bagamba nti: “Nga bwe bataagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tununudde, wabula buli omu afune mukazi we n'abaana, bagende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ababi n'abatalimu nsa, mwabo abagenda ne Dawudi, ne bagamba nti, “Tetujja kubawa ku munyago gwetusuzizza kubanga tebagenda naffe; wabula buli muntu tumuddize mukazi we n'abaana be bagende.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja bonna ababi era abatalina mugaso, mu abo abaali bagenze ne Dawudi ne bagamba nti: “Nga bwe bataagenda wamu naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tuleese, wabula batwale bakazi baabwe n'abaana baabwe bagende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ababi n'abantu ba Beriali ku abo abaagenda ne Dawudi ne baddamu ne boogera nti Kubanga tebaagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tubasuuzizza, wabula buli muntu mukazi we n’abaana be, babatwale bagende.