1 Samuel 30:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Dawudi n'agamba nti: “Baganda bange, temukola mutyo ku bino Omukama by'atuwadde; yatukuuma, ebikwanga by'abanyazi ebyali bitulumbye n'abituwa mu mikono gyaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, Mukama by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayogera nti, “Baganda bange, si bwe mugenda okukola ku ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Dawudi n'agamba nti: “Baganda bange, temujja kukola bwe mutyo, ku ebyo Mukama by'atuwadde! Atukuumye n'atuwa okuwangula abanyazi abaatulumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n’ayogera nti Baganda bange, si bwe mugenda kukola ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala.