1 Samuel 30:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani anaabawuliriza nga mwogera ebyo? Omugabo gunaaba gwe gumu eri eyaserengeta ku lutalo n'oli eyasigala ku migugu; bonna ba kugabana kyenkanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ani anaabawulira mu kigamho ekyo? kuba omugabo gw'oyo aserengeta mu lutalo nga bwe guli, bwe gutyo bwe gunaabeera omugabo gw'oyo asigala ku bintu: banaagabana okwenkanankana.