1 Samuel 30:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi bwe yadda mu Zikulagi, ku munyago n'aggyako ebimu n'aweerezaako abakadde mu Yuda abaali mikwano gye, ng'agamba nti: “Akalabo kaako akaggyiddwa ku munyago oguggyiddwa ku balabe b'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'agamba nti, “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyango gwe twaggya ku balabe ba Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza mikwano gye, abakulembeze ba Buyudaaya, ku munyago ng'agamba nti: “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyago gwe twaggya ku balabe ba Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'ayogera nti Laba ekirabo kyammwe eky'oku munyago gw'abalabe ba Mukama;