1 Samuel 30:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne basajja be bwe baatuuka ku kibuga baasanga nga kyokeddwa omuliro, nga bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe batwaliddwa mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, ne basanga nga kyokeddwa omuliro, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga banyagiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba, nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze.