1 Samuel 30:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'awulira ennaku nnyingi nnyo, anti abantu baali bagamba kya kumukuba mayinja, kubanga buli musajja omutima gwe gwali gunyolwa olwa batabani be ne bawala be. Naye Dawudi n'asanga amaanyi mu Mukama Katonda we,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri Mukama Katonda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be, naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'anakuwala nnyo, kubanga abantu baagamba okumukuba amayinja. Abantu bonna omwoyo gwabaluma, nga balumirwa batabani baabwe ne bawala baabwe. Naye Dawudi n'afuna amaanyi mu kwesiga Mukama Katonda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be: naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.