1 Samuel 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Abiyatari kabona, mutabani wa Akimeleki nti: “Efodi ginzigireyo.” Abiyatari efodi n'agireetera Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti, “Nkwegayiridde ndeetera wano ekkanzu ey'obwakabona.” Abiyasaali n'aleetera Dawudi ekkanzu ey'obwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Abiyataari kabona mutabani wa Ahimeleki nti: “Nkwegayiridde ndeetera wano efodi.” Abiyataari n'aleeta efodi eri Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti Nkwegayiridde, leeta eno ekkanzu. Abiyasaali n'aleetayo ekkanzu eri Dawudi.