1 Samuel 30:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Mpondere ekikwanga ky'abanyazi bano? Nnaabakwata ne nnunula abasibe?” N'amugamba nti: “Bawondere; ojja kubakwata n'okununula onunule bye banyaze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako?” N'amuddamu nti, “Goberera; kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Mpondere abanyazi abo? Nnaabakwata?” Mukama n'amuddamu nti: “Bawondere. Ddala ojja kubakwata era onunule abawambe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibantukako? N'amuddamu nti Goberera: kubanga tolirema kubatunkako, era tolirema kubibasuuza byonna.