1 Samuel 31:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo kwe kugamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Sowola ekitala kyo okimpiseemu, sikulwa nga bano abatali batayirire bajja ne banfumita ne banjolonga.” Naye omwetissi w'ebyokulwanyisa bye n'agaana, kubanga yali atidde nnyo. Sawulo kwe kubaka ekitala kye n'akyesuulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onfumite, abatali bakomole abo baleme okunkwata ne bambonyaabonya n’okunswaza ne banswaza.” Naye eyasitulanga ebyokulwanyisa bye n’atya era n’agaana okukikola. Sawulo kyeyava asowola ekitala kye ne yetta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite; abatali bakomole baleme okunzita ne banswaza.” Naye eyasitulanga eby'okulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba oyo eyakwatanga ebyokulwanyisa bye nti: “Ggyayo ekitala kyo onzite, abo abatali bakomole, baleme okujja ne banzita, ne banswaza.” Naye eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo n'agaana, kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava akwata ekitala kye n'akyetungako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banfumita ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.