1 Samuel 31:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwetissi we ow'ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeesuula ku kitala kye n'afa wamu naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, n’asowola ekitala kye naye ne yetta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeetunga ku kitala kye, n'afiira wamu naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye.