1 Samuel 31:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'afa, ko ne batabani be abasatu, omwetissi we ow'ebyokulwanyisa ne basajja be bonna; ne bafa lumu ku lunaku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo bw’atyo, ne batabani be abasatu, n’eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ne baafiira ku lunaku lumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo ne batabani be abasatu, n'omuvubuka eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, era ne basajja be bonna ne bafiira wamu ku lunaku olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ku lunaku olwo wamu.