1 Samuel 31:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja Abayisirayeli abaali emitala w'ekiwonvu n'abaali emitala wa Yorudani bwe baalaba ng'abasajja ab'eggye lya Yisirayeli badduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafilisitiini ne bajja ne babisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri abaali emitala w’ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba ng’eggye lya Isirayiri lidduse nga ne Sawulo ne batabani be abasatu bafudde, ne balekulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n'abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli abaali emitala w'ekiwonvu, n'abo abaali emitala wa Yorudaani, bwe baalaba ng'eggye lya Yisirayeli lidduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafilistiya ne bajja ne babibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.