1 Samuel 31:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, Abafilisitiini bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be basatu nga bagaŋŋalamye ku lusozi Gilubowa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera, Abafirisuuti bwe baagenda okwambula emirambo, baasanga Sawulo ne batabani be abasatu bafiiridde ku lusozi Girubowa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo enkeera, Abafilistiya bwe bajja okwambula abafu, ne basanga enjole ya Sawulo, n'emirambo gya batabani be abasatu, nga gigudde ku lusozi Gilubowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa.