1 Samuel 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne balwana, Yisirayeli n'awangulwa, buli omu n'adduka ng'adda mu weema ye. Baakubibwa bubi nnyo; mu Yisirayeli ne mufaamu abalwanira ku bigere emitwalo esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne balwana ne bakuba Abaisiraeri, Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu weema ye. Abantu bangi ne battibwa Abaisiraeri ne baffaamu abasserikale abatambula n'ebigere emitwalo esatu (30,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya ne balwana, ne bawangula Abayisirayeli. Abayisirayeli ne badduka buli omu n'addayo mu maka ge. Abantu bangi ne battibwa. Abayisirayeli ne bafaamu abaserikale emitwalo esatu ab'ebigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne balwana, Isiraeri n'akubibwa, ne baddukira buli muntu mu weema ye: ne waba olutta lunene nnyo; kubanga ku Baisiraeri ne kugwa abasajja abatambula n'ebigere obukumi busatu.