1 Samuel 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo, omusajja Omubenyamiini n'adduka okuva mu ddwaniro n'ajja e Silo, engoye ze nga ziyuliseyulise n'enfuufu emuli mu mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja ow'omu kika kya Benyamini n'ava mu ddwaniro ku lunaku olwo, n'adduka n'atuuka e Siiro nga ayuzizza engoye ze nga yeesiize n'ettaka ku mutwe okulaga obunakuwavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja ow'omu Kika kya Benyamiini, n'ava mu ddwaniro, n'adduka okutuuka e Siilo ku lunaku olwo, ng'ayuzizza ebyambalo bye, era ng'asiize ettaka mu mutwe gwe okulaga okunakuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja wa Benyamini n’ava mu ggye n'adduka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye ze nga ziyulise n'ettaka nga liri ku mutwe gwe.