1 Samuel 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yajja, Eli yali atudde ku katebe kumpi n'omulyango ng'alindirira, kubanga omutima gwe gwali gweraliikirira Ssanduuku y'Omukama. Omusajja bwe yayingira ekibuga, n'akibuulira; ekibuga kyonna ne kireekaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka, Eri yali ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'alindirira, kubanga yali nga yeeraliikirira olw'essanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga, naawa abantu amawulire, ekibuga kyonna ne kireekaanira waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutuuka, yasanga Eli atudde mu ntebe ye, okumpi n'ekkubo, nga yeekaliriza amaaso era nga yeeraliikirira olw'Essanduuko ya Katonda. Awo omusajja oyo bwe yatuuka mu kibuga, n'awa abaamu amawulire, abantu bonna ne baleekaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yajja, laba, Eri ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'atunuulira: kubanga omutima gwe gwali gukankanira sanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga n'akibuulira, ekibuga kyonna ne kyogerera waggulu.