1 Samuel 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba Eli nti: “Naakava mu ddwaniro, nziruseeyo lwa leero.” Ye n'amubuuza nti: “Bigenze bitya, mwana wange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.” Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'agamba Eri nti, “Nze nvudde mu ddwaniro.” Eri n'amubuuza nti, “Bibadde bitya, mwana wange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'agamba Eli nti: “Nze nvudde mu ddwaniro, era nziruseeyo lwaleero.” Eli n'amubuuza nti: “Mwana wange, byagenze bitya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N'ayogera nti Byali bitya, mwana wange?