1 Samuel 4:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyali aleese amawulire n'ayanukula nti: “Yisirayeli adduse Abafilisitiini; abantu bangi batokomose, mu bo nga mwe muli ne batabani bo ababiri; Kofuni ne Finekasi bafudde, n'Essanduuku ya Katonda enyagiddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eyaleeta amawulire n'addamu nti, “Abaisiraeri bawanguddwa Abafirisuuti. Era abantu bangi nnyo abattiddwa, ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyaleeta amawulire n'amuddamu nti: “Abayisirayeli badduse Abafilistiya, era abantu bangi nnyo abattiddwa. Ne batabani bo bombi Hofuni ne Finehaasi, battiddwa era n'Essanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oyo eyaleeta ebigambo n'addamu n'ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g'Abafirisuuti, era wabaddewo olutta olunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.