1 Samuel 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli olwayogera ku Ssanduuku ya Katonda, Eli n'aneguka ku katebe n'agwa bugazi enkoto okumpi n'omulyango, ensingo n'emenyeka, n'afa, kubanga yali musajja mukadde ate nga munene. Yali amaze emyaka amakumi ana ng'alamula Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n'awanuka ku ntebe ye n'agwa bugazi kumpi n'omulyango, ensingo ye ne kutukako n'afa; kubanga yali mukadde nnyo ate nga muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana (40).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yayogera ku Ssanduuko ya Katonda, Eli n'awanuka ku ntebe, n'agwa bugazi okumpi n'omulyango. Nga bwe yali mukadde era nga munene, bwe yagwa yamenyeka ensingo, n'afa. Yali alamulidde Yisirayeli emyaka amakumi ana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g'omulyango, obulago bwe ne bukutukako n'afa: kubanga yali mukadde n'obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana.