1 Samuel 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukaamwana we, muka Finekasi, yali lubuto ng'anaatera okuzaala. Olwawulira nga Ssanduuku ya Katonda ewambiddwa, nga ne ssezaala we ne bba bafudde, n'afunirawo ebisa, n'azaala, naye obulumi bw'okuzaala ne bumuyitirirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mukaamwana wa Eri, muka Finekaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, najjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mukaamwana wa Eli, muka Finehaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti Essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'ajjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo muka mwana we, mukazi wa Finekaasi, yali lubuto ng'alitera okuzaala: awo bwe yawulira ebigambo nga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'akutama n'azaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukako.