1 Samuel 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne batala okulwanyisa Yisirayeli; olutalo ne lunyiinyittira; Yisirayeli n'awangulwa. Abafilisitiini ne babattamu abasajja ng'enkumi nnya mu ddwaniro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafirisuuti ne balumba Abaisiraeri, bwe basisinkana Abafirisuuti ne bakuba Abaisiraeri ne babattamu abasajja ng'enkumi nnya (4,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya ne beetereeza ne balumba Abayisirayeli. Olutalo bwe lwanyinnyittira, Abafilistiya ne bawangula Abayisirayeli, ne babattamu abantu ng'enkumi nnya mu ddwaniro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukaganako, Isiraeri n'akubibwa mu maaso g'Abafirisuuti: ne battira awo ku ggye lyabwe abasajja ng'enkumi nnya.