1 Samuel 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali afa, abaali bamuzaalisa ne bamugamba nti: “Leka kutya; ozadde mulenzi.” Naye ye teyabaanukula, teyafaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti, “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti: “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ng'anaatera okufa abakazi abaayimirira wali ne bamugamba nti Totya; kubanga ozadde omwana wa bulenzi. Naye n'ataddamu so teyassaayo mwoyo.