1 Samuel 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana n'amutuuma Yikabodi, ng'agamba nti: “Ekitiibwa kivudde mu Yisirayeli,” anti Ssanduuku ya Katonda yali ewambiddwa, ate nga ne ssezaala we ne bba bafudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuuma omwana erinnya Ikabodi ng'ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne ssezaala we ne bba bafudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana n'amutuuma erinnya, Yikabodi ng'agamba nti: “Yisirayeli aggyiddwako ekitiibwa,” kubanga Essanduuko ya Katonda yali enyagiddwa, era ssezaala we ne bba nga bafudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuuma omwana Ikabodi ng'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri: kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne kulwa ssezaala we ne bba