1 Samuel 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bakomawo mu lusiisira, abakadde ba Yisirayeli ne babuuza nti: “Omukama lwaki olwa leero atulese ne tuwangulibwa mu maaso g'Abafilisitiini? Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama tugiggye e Silo tugireete eno, tugende nayo etuwonye mu mikono gy'abalabe baffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bwe baddayo mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne beebuuza nti, “Lwaki leero Mukama akkirizza Abafirisuuti okutuwangula? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama tugiggye e Siiro tugireete wano etulokole mu mikono gy'abalabe baffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baatuuka mu lusiisira, abakulu baabwe ne beebuuza nti: “Lwaki olwaleero Mukama akkirizza Abafilistiya okutuwangula? Tugende e Siilo tuggyeyo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, tugireete we tuli ebeere wamu naffe, etuwonye abalabe baffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bwe baatuuka mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne boogera nti Mukama atukubidde ki leero mu maaso g'Abafirisuuti? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw'abalabe baffe.