1 Samuel 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama bwe yatuuka mu lusiisira, Yisirayeli yenna n'aleekaana n'eddoboozi ddene, ettaka ne liduduma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n'ewuumira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abayisirayeli bonna ne baleekaana nnyo, n'ensi n'ekankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n’ewuumira ddala.